Okutimbula Ebipande Byabavuganya Kweyongedde

0
88

Abavuganya ku bifo byobufuzi eby’enjawulo okwetooloola district ey’e Mpigi ssibasanyufu n’abamu ku bantu abeegumbulidde omuze ogw’okuyuza ebipande byabwe sso nga n’ebimu bitungulwamu amaaso.

Abamu ku beesimbyewo bagamba ebipande byabwe biyuzibwa okusinga mu budde obw’ekiro bannaabwe ababavuganya oba abawagizi baabo bebavuganya nabo sso nga babiteekamu ensimbi mpitirivu.

Twogeddeko ne Joseph Ssempijja omu kubavuganya ku kifo ky’obwa councilor mu town council y’e Buwama okukiikirira abantu mu lukiiko lwa district ey’e Mpigi, atubuulidde nti keekadde abeebyokwerinda okuyingira mu nsonga eno ng’obudde tebunnadda ku bunnaabwo.

Ayogerera police mu ttundutundu lya Katonga Lydia Tumushabe ategeezezza nga tumutuukiridde okwogera ku nsonga eno nga police ne bambega baayo bwebalondoola byonna ebikolebwa era alabudde anaakwatibwa nga ayuza ebipande by’abeesimbyewo nga bwekajja okumujjuutuka kuba kimenya mateeka mu kawaayiro ak’etteeka erifuga ebyokulondesa mu ggwanga.