Kkooti Yakuwulira Okusaba Kwa Mabirizi Ku Bobiwine Nga 10th Omwezi guno

0
117

Kkooti eyókuluguudo Buganda etadewo ennaku zómwezi nga September 10th 2020 okuwulirirako okusaba kwámunnamateeka Male Mabirizi mwayagalira kooti ekise ekibaluwa kibakuntumye eri omubaka wa Kyadondo East mu palamenti, Robert Kyagulanyi lwakulimba myaka gye.

Omulamuzi Stella Amabilisi yalaze ennaku zino
Okusinzira ku biwandiiko ebyatwalibwa mu kkooti ngénnaku zomwezi August 31st 2020, Kyagulanyi Kyangulanyi alina okwewozako ku bigambibwa nti yalimba abakulu abakola ku bya passport nti yazaalibwa mu 1982 songa yazaalibwa mu 1980.

Okusinzira ku biwandiiko bya UNEB ne Makerere University, Mabirizi agamba nti Kyagulanyi nga akyali muyizi mu siniya yalaga nti 1980.

Mabirizi agamba nti ayagala ebya Kyagulanyi okwesimbawo ku ntebe eyóbukulembeze bweggwanga mu kulonda okujja bisazibwemu lwakulimba myaka.