Bannakyewa bagala ekifo kya Kaliisoliiso wa Gavt kijjuzibwe

0
118

Bannakyewa basabye gavumenti okujjuza ekifo kya kalisoliiso wa gavumenti omulimo gwókulwanyisa enguzi gwanguwe.

Bano okubadde ekibiina kya Action Aid Uganda, Transparency international and the Uganda debt Network bagamba nti eggwanga obutaba na kalisoliiso wa gavumenti mujjuvu kitataganya omulimo gwókulwanyisa obulyake mu bakungu ba gavumenti.

Okusinzira kwákulira ekibiina ki Action Aid Uganda Xavier Ejoyi, obutaba nákaliisoliiso kirwisa okuwulira emisango egyékuusa ku bukenuzi.

Okunonyereza kulaga nti Uganda eri mu kifo 137th ku mawanga 180 agasinga okubamu obuli benguzi