Munnamateeka Hassan Male Mabirizi Asabye Kkooti eyise Ekibaluwa ki Bakuntumye eri Omubaka wa Kyadondo East mu Palamenti

0
115

Munnamateeka Hassan Male Mabirizi asabye kkooti eyokuluguudo Buganda eyise ekibaluwa ki bakuntumye eri omubaka wa Kyadondo East mu palamenti era nga ye senkagale wékibiina ki NUP Robert Kyagulanyi lwakulimba myaka gye.

Okusinzira ku biwandiiko ebiri mu yafeesi ya registry, Kyagulanyi alina okwewozako ku bigambibwa nti yalimba abakulu abakola ku bya passport nti yazaalibwa mu 1982 songa yazaalibwa mu 1980.

Okusinzira ku biwandiiko bya UNEB ne Makerere University, Mabirizi agamba nti Kyagulanyi nga akyali muyizi mu siniya yalaga nti 1980.

Mabirizi agamba nti nga munnauganda akwatibwako ensonga ayagala ebya Kyagulanyi okuvuganya kuntebe eyomukulembeze weggwanga mu kulonda okujja bisazibwemu ate aganibwe okwesimbawo mu bifo ebyobukulembeze okumala emyaka 7 singa kikakasibwa nti yalimba emyaka gye

Omulamuzi Miriam Akello Ayo wakwetegereza okwemulugunya kwa Mabirizi alabe oba kisanidde okutekako kyagulanyi ekibaluwa kibakuntumye.